Psalms 54

Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi, Abazifu bwe bajja ne babuulira Sawulo nti, “Dawudi yeekwese mu ffe.”

1 aOlw’erinnya lyo ondokole, Ayi Katonda,
n’amaanyi go amangi onzigyeko omusango.
2 bWulira okusaba kwange, Ayi Katonda,
owulirize ebigambo by’omu kamwa kange.

3 cAbantu be simanyi bannumba;
abantu abalina ettima abatatya Katonda;
bannoonya okunzita.

4 dLaba, Katonda ye mubeezi wange,
Mukama ye mukuumi wange.

5 eLeka ebintu ebibi byonna bye bantegekera, bibeekyusize,
obazikirize olw’obwesigwa bwo.

6 fNnaakuleeteranga ssaddaaka ey’ekyeyagalire;
ne ntendereza erinnya lyo, Ayi Mukama,
kubanga ddungi.
7 gKubanga Katonda amponyezza ebizibu byange byonna;
era amaaso gange galabye ng’awangula abalabe bange.
Copyright information for LugEEEE